Add parallel Print Page Options

11 (A)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

Read full chapter

(A)Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
    ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
(B)Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
    tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
    bakungubaga.
10 (C)Ennimiro ziweddemu ebirime;
    ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
    omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 (D)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
    mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
    kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (E)Omuzabbibu gukaze
    n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
    n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 (F)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
    Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
    musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
    eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.

Read full chapter