Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

(A)Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”

Read full chapter

(A)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

Read full chapter

(A)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
    era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
    nga bagula ebyamaguzi byo.

10 (B)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
    baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
    ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
    be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
    nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
    era be baakulabisanga obulungi.

12 (C)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13 (D)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14 (E)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15 (F)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16 (G)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17 (H)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18 (I)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21 (J)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22 (K)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23 (L)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
    bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
    wakati mu nnyanja.

Read full chapter

Notas al pie

  1. 27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya

(A)Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
    bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
    ‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
    era sirina nnaku.’

Read full chapter

(A)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa.

Read full chapter