Add parallel Print Page Options

29 (A)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”

Read full chapter

19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni,

Read full chapter

Baraki awangula Sisera

11 (A)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:11 Omukeeni Abakeeni baakolagananga nnyo n’Abayisirayiri okuviira ddala mu biseera bya Musa (Kuv 3:1). Baalwanira wamu n’Abayisirayiri, Abayisirayiri okuwangula ensi ya Kanani (Bal 1:16).

(A)ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali.

Read full chapter

13 (A)Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki[a] ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:13 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38), ate Abamaleki baali bazzukulu ba Esawu (Lub 36:12, 16). Baaliraananga Abayisirayiri ate nga be balabe baabwe abasingirayo ddala okuba abakambwe.

Yaladi Kizikirizibwa

21 (A)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo.

Read full chapter