Olubereberye 15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu
15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
“Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo.”
2 (B)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 3 (C)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4 (D)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 5 (E)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
6 (F)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7 N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8 (G)Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9 Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
10 (H)Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11 Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.
12 (I)Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 13 (J)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 14 (K)Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 15 (L)Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 16 (M)Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”
17 (N)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (O)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20 n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21 n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.