Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Welcome to the new Bible Gateway. Take a quick tour and see what’s new.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
New Bible Gateway. Take the quick tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Okubala 10  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Amakondeere Aga Ffeeza

10 Mukama n’agamba Musa nti, 2 (A)“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. 3 Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 4 (B)Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. 5 (C)Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. 6 (D)Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. 7 (E)Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.

8 (F)“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. 9 (G)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 10 (H)Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Okuva mu Sinaayi

11 (I)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (J)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.

14 (K)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (L)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.

18 (M)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (N)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.

22 (O)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.

25 (P)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.

29 (Q)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”

30 (R)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”

31 (S)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (T)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”

Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu

33 (U)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (V)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.

35 (W)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,

“Golokoka, Ayi Mukama!
    Abalabe bo basaasaane;
    amaggye agakulwanyisa gakudduke.”

36 (X)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,

“Komawo, Ayi Mukama,
    eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”

Cross references

  1. 10:2 : a Nek 12:35; Zab 47:5 b Yer 4:5, 19; 6:1; Kos 5:8; Yo 2:1, 15; Am 3:6
  2. 10:4 : Kuv 18:21; Kbl 1:16; 7:2
  3. 10:5 : nny 14
  4. 10:6 : nny 18
  5. 10:7 : a Ez 33:3; Yo 2:1 b 1Ko 14:8
  6. 10:8 : Kbl 31:6
  7. 10:9 : a Bal 2:18; 6:9; 1Sa 10:18; Zab 106:42 b Lub 8:1 c Zab 106:4
  8. 10:10 : a Zab 81:3 b Lv 23:24
  9. 10:11 : a Kuv 40:17 b Kbl 9:17
  10. 10:13 : Ma 1:6
  11. 10:14 : a Kbl 2:3-9 b Kbl 1:7
  12. 10:17 : Kbl 4:21-32
  13. 10:18 : Kbl 2:10-16
  14. 10:21 : a Kbl 4:20 b nny 17
  15. 10:22 : Kbl 2:24
  16. 10:25 : Kbl 2:31; Yos 6:9
  17. 10:29 : a Bal 4:11 b Kuv 2:18 c Kuv 3:1 d Lub 12:7
  18. 10:30 : Mat 21:29
  19. 10:31 : Yob 29:15
  20. 10:32 : a Ma 10:18 b Zab 22:27-31; 67:5-7
  21. 10:33 : a nny 12; Ma 1:33 b Yos 3:3
  22. 10:34 : Kbl 9:15-23
  23. 10:35 : a Zab 68:1 b Ma 7:10; 32:41; Zab 68:2; Is 17:12-14
  24. 10:36 : a Is 63:17 b Ma 1:10
Next
Okubala 9
Okubala 11
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway