Numbers 10
Lexham English Bible
The Silver Trumpets
10 Yahweh spoke to Moses, saying, 2 “Make yourself two silver trumpets; make them of hammered-work. You will use them[a] for calling the community and for breaking the camp. 3 You will blow them, and all the community will assemble to the doorway of the tent of assembly. 4 But if they blow only one, the leaders, the heads of the thousands of Israel, will assemble to you. 5 When you will blow a blast, the camps that are camping on the east will set out; 6 when you blow a second blast, the camps that are camping on the south will set out; they will blow a blast for their journeys. 7 But when summoning the assembly, you will blow, but you will not signal with a loud noise. 8 The sons of Aaron, the priests, will blow on the trumpets; this will be an eternal decree for your generations. 9 If you go to war in your land against the enemy who attacks you, you will signal with a loud noise on the trumpets. You will be remembered before[b] Yahweh your God, and you will be rescued from your enemies.
10 “And on the day of your joy and in your appointed times, at the beginning of your months, you will blow on the trumpets in addition to your burnt offerings and in addition to the sacrifices of your fellowship offerings. And they will be as a memorial for you before[c] your God; I am Yahweh your God.”
The Israelites Depart from Sinai
11 And it happened, in the second year, in the second month, on the twentieth of the month the cloud was lifted from upon the tabernacle of the testimony.[d] 12 And the Israelites[e] set out for their journey[f] from the desert of Sinai, and the cloud dwelled in the desert of Paran. 13 They set out for the first time[g] on the command of Yahweh in the hand of Moses.[h] 14 The standard of the camp of the descendants[i] of Judah set out for the first time according to their divisions, with Nahshon son of Amminadab over its division. 15 And Nathanel son of Zuar was over the division of the descendants[j] of Issachar; 16 Eliab son of Helon was over the division of the tribe of the descendants[k] of Zebulun.
17 The tabernacle was taken down, and the sons of Gershon and the sons of Merari, the bearers of the tabernacle, set out. 18 And the standard of the camp of Reuben according to their divisions; Elizur son of Shedeur was over their division. 19 Shelumiel son of Zurishaddai was over the division of the sons of the tribe of Simeon. 20 Eliasaph son of Deuel was over the division of the tribe of the descendants[l] of Gad.
21 The Kohathites, the bearers of the sanctuary, set out, and they set up the tabernacle before they arrived. 22 And the stand of the camp of the descendants[m] of Ephraim set out according to their divisions; Elishama son of Ammihud was over its division. 23 Gamaliel son of Pedahzur was over the division of the tribe of the descendants[n] of Manasseh. 24 Abidan son of Gideoni was over the division of the tribe of the descendants[o] of Benjamin.
25 Then the standard of the camp of the descendants[p] of Dan, who formed a rear guard for all the camps, set out according to their divisions; Ahiezer son of Ammishaddai was over its division. 26 Pagiel son of Ocran was over the division of the tribe of the descendants[q] of Asher. 27 Ahira son of Enan was over the division of the tribe of the descendants[r] of Naphtali. 28 These were the departures of the Israelites[s] according to their divisions; and so they set out.
29 Moses said to Hobab son of Reuel the Midianite, the father-in-law of Moses, “We are setting out to the place that Yahweh said, ‘I will give it to you’; go with us, and we will treat you well[t] because Yahweh promised[u] good concerning Israel.” 30 But he said to him, “I will not go. I will only go to my land and to my family.” 31 He[v] said, “Please, do not abandon us because you know our encampment in the desert, and you should be our guide.[w] 32 Moreover, if you go with us, the good that Yahweh will do to us we will do to you.”
33 And so they set out from the mountain of Yahweh a journey of three days, with the ark of the covenant of Yahweh setting out ahead of them[x] three days’ journey to search out a resting place for them; 34 and the cloud of Yahweh was over them by day when they set out from the camp.
35 And whenever the ark was setting out Moses would say,
“Rise up, Yahweh!
May your enemies be scattered;
may the ones that hate you flee from your presence.”
36 And when it rested he would say,
“Return, Yahweh,
to the countless thousands of Israel.”
Footnotes
- Numbers 10:2 Literally “They will be for you”
- Numbers 10:9 Literally “in the presence of”
- Numbers 10:10 Literally “in the presence of”
- Numbers 10:11 Some modern translations (e.g., the NRSV) have “tabernacle of the covenant”
- Numbers 10:12 Literally “sons/children of Israel”
- Numbers 10:12 Hebrew “journeys”
- Numbers 10:13 Literally “in the beginning”
- Numbers 10:13 Or “through Moses”
- Numbers 10:14 Or “sons”
- Numbers 10:15 Or “sons”
- Numbers 10:16 Or “sons”
- Numbers 10:20 Or “sons”
- Numbers 10:22 Or “sons”
- Numbers 10:23 Or “sons”
- Numbers 10:24 Or “sons”
- Numbers 10:25 Or “sons”
- Numbers 10:26 Or “sons”
- Numbers 10:27 Or “sons”
- Numbers 10:28 Literally “sons/children of Israel”
- Numbers 10:29 Literally “do good to you”
- Numbers 10:29 Literally “Yahweh spoke”
- Numbers 10:31 That is, Moses
- Numbers 10:31 Literally “you should be our eyes”
- Numbers 10:33 Or “before them”
Okubala 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amakondeere Aga Ffeeza
10 Mukama n’agamba Musa nti, 2 (A)“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. 3 Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 4 (B)Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. 5 (C)Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. 6 (D)Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. 7 (E)Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.
8 (F)“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. 9 (G)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 10 (H)Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Okuva mu Sinaayi
11 (I)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (J)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
14 (K)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (L)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
18 (M)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (N)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
22 (O)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
25 (P)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29 (Q)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30 (R)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 (S)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (T)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu
33 (U)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (V)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35 (W)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,
“Golokoka, Ayi Mukama!
Abalabe bo basaasaane;
amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
36 (X)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,
“Komawo, Ayi Mukama,
eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
2012 by Logos Bible Software. Lexham is a registered trademark of Logos Bible Software
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.