Add parallel Print Page Options

35 (A)ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu;

Read full chapter

(A)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.

Read full chapter

Yuda Erumbibwa

(A)“Kirangirire mu Yuda
    era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
    Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
    tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’

Read full chapter

19 (A)Obulumi, Ayi Obulumi!
    Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
    Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
    mpulidde enduulu z’olutalo.

Read full chapter

Abeesigwa Bagambibwa Okudduka

(A)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
    Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
    era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
    okuzikirira okw’entiisa.

Read full chapter

(A)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
    n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
    mutukulembere mmwe Benyamini.

Read full chapter

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

(A)Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
    N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
    kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.

Read full chapter

15 (A)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
    mulangirire okusiiba okutukuvu.
    Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.

Read full chapter

(A)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

Read full chapter