Add parallel Print Page Options

31 (A)“Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.

Read full chapter

21 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (B)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (C)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.

Read full chapter