Isaaya 35:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7 (B)N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
8 (C)Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
liriba ly’abali abalongoofu,
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.