Add parallel Print Page Options

(A)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.

Read full chapter

(A)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
    bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
    balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
(B)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
    era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
    mu ndagaano ey’emirembe gyonna
    etegenda kwerabirwa.

Read full chapter

(A)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
    tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
    n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.

Read full chapter