Isaaya 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
2 (B)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
3 (C)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 (D)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli
5 (E)“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
era omuggo gw’ekiruyi kyange.
6 (F)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
7 (G)Naye kino si kye kigendererwa kye,
kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
okumalirawo ddala amawanga mangi.
8 (H)‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
9 (I)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 (J)Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”
12 (K)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (L)Kubanga yayogera nti,
“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (M)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
15 (N)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (O)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
ogwokya ng’oluyiira.
17 (P)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (Q)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
n’ennimiro ze, engimu,
ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (R)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
nga n’omwana ayinza okugibala.
Abalisigalawo ku Isirayiri
20 (S)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (T)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (U)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
kubanga kusaanidde.
23 (V)Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
24 (W)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,
“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (X)Kubanga mu kaseera katono nnyo
obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
26 (Y)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
nga bwe yakola e Misiri.
27 (Z)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
olw’obugevvu bwo.
28 (AA)Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
liyise mu Migulooni,
era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 (AB)Bayise awavvuunukirwa, e Geba
ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
Gibea wa Sawulo adduse.
30 (AC)Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
Ggwe Layisa wuliriza!
Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 (AD)Olwa leero bajja kusibira Nobu,
balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
akasozi ka Yerusaalemi.
33 (AE)Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
Footnotes
- 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli
以賽亞書 10
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
10 制定不義律例、起草不公法令的人啊,
你們有禍了!
2 你們冤枉窮人,
奪去我子民中困苦者的權利,
擄掠寡婦,搶劫孤兒。
3 在懲罰的日子,
當災禍從遠方臨到你們頭上時,
你們怎麼辦?
你們能跑到誰那裡去求救呢?
你們能把財物藏在哪裡呢?
4 你們將不是被擄就是被殺。
雖然如此,耶和華的怒氣還沒有止息,
祂降罰的手沒有收回。
主要審判亞述
5 耶和華說:「亞述王有禍了!
他是我的憤怒之棍,
他手中拿著我發烈怒的杖。
6 我要差遣他去攻打一個不虔敬的國家,
一個惹我發怒的民族,
去搶奪、擄掠他們的財物,
像踐踏街上的泥土一樣踐踏他們。
7 可是他卻不這樣想,
心裡也不這樣盤算,
他只想毀滅許多國家。
8 他說,『我的臣僕都要做藩王!
9 迦勒挪豈不是和迦基米施一樣嗎?
哈馬豈不是和亞珥拔一樣嗎?
撒瑪利亞豈不是和大馬士革一樣嗎?
它們不是都被我征服了嗎?
10 這些國家都在我的手中,
他們雕刻的偶像不勝過耶路撒冷和撒瑪利亞的偶像嗎?
11 我怎樣毀滅撒瑪利亞和它的偶像,
也必怎樣毀滅耶路撒冷和它的偶像。』」
12 主完成在錫安山和耶路撒冷要做的事後,必懲罰心裡狂妄、眼目高傲的亞述王。
13 因為亞述王說:
「我靠自己的力量和智慧成就了此事,
因為我很聰明。
我廢除列國的疆界,
擄掠他們的財物,
像勇士一樣征服他們的君王。
14 我奪取列國的財物,
好像探囊取物;
我征服天下,
不過是手到擒來;
無人反抗,無人吭聲。」
15 然而,斧頭怎能向舞動它的人自誇呢?
鋸子怎能向用鋸的人炫耀呢?
難道棍子可以揮動舉它的人嗎?
手杖可以舉起它的主人嗎?
16 因此,主——萬軍之耶和華必使亞述王強健的士兵疾病纏身,
使火焰吞噬他的榮耀。
17 以色列的光必成為火焰,
他們的聖者必成為烈火,
一日之間燒光亞述王的荊棘和蒺藜。
18 他茂盛的樹林和肥美的田園必被徹底摧毀,
猶如病人漸漸消亡。
19 林中剩下的樹木稀少,
連小孩子也能數清。
以色列的餘民
20 到那日,以色列的餘民,就是雅各家的倖存者,將不再倚靠欺壓他們的亞述,他們將真心倚靠耶和華——以色列的聖者, 21 重新歸向全能的上帝。 22 以色列啊,你的人民雖多如海沙,將只有剩餘的人歸回。充滿公義的毀滅之事已定。 23 因為主——萬軍之耶和華必按所定的在整個大地上施行毀滅。
24 因此,主——萬軍之耶和華說:「我錫安的子民啊,雖然亞述人像埃及人一樣揮舞著棍棒毒打你們,你們不要懼怕。 25 因為很快我就不再向你們發怒,我要向他們發怒,毀滅他們。」 26 萬軍之耶和華要鞭打他們,就像在俄立磐石擊殺米甸人,就像祂向海伸杖,使海水淹沒埃及人。 27 到那日,祂必除去亞述人加在你們肩頭的重擔和頸上的軛;那軛必因你們肥壯而折斷。
28 亞述大軍攻佔了亞葉,
穿過米磯崙,
把輜重存放在密抹。
29 他們過了關口,
在迦巴宿營。
拉瑪人戰戰兢兢,
掃羅的鄉親基比亞人倉皇逃跑。
30 迦琳人啊,高聲喊叫吧!
萊煞人啊,可憐的亞拿突人啊,
留心聽吧!
31 瑪得米納人逃跑,
基柄人躲藏。
32 那時,亞述王必屯兵挪伯,
向著錫安城[a]的山嶺,
向著耶路撒冷的山丘摩拳擦掌。
33 看啊,主——萬軍之耶和華要以大能削去樹枝。
高大的樹必被斬斷,
挺拔的大樹必被砍倒,
34 茂密的樹林必被鐵斧砍掉,
連黎巴嫩的大樹也要倒在全能的上帝面前。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.