Isaaya 11:1-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 (B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 (C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 (D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 (E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6 (F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
era omwana omuto yalizirabirira.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
abaana baazo banaagalamiranga wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 (G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.