Danyeri 5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekiwandiiko ku Kisenge
5 (A)Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. 2 (B)Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. 3 Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. 4 (C)Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
5 Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. 6 (D)Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
7 (E)Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
8 (F)Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. 9 (G)Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
10 (H)Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 11 (I)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (J)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
13 (K)Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda? 14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu. 15 Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola. 16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
17 (L)Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
18 (M)“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 19 (N)era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. 20 (O)Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako. 21 (P)N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
22 (Q)“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 (R)Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. 24 Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.
25 “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti:
Mene, Mene, Tekel, Ufarsin.
26 (S)“N’amakulu gaabyo ge gano:
“Mene:[a] Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.
27 (T)“Tekel:[b] Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;
28 (U)“Peres:[c] Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”
29 Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.
30 (V)Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa. 31 (W)Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.
Daniel 5
New Catholic Bible
Belshazzar’s Banquet[a]
Chapter 5
The Writing on the Wall. 1 King Belshazzar hosted a magnificent banquet for a thousand of his nobles, and he was drinking wine in their presence. 2 Under the influence of the wine, he gave orders that the gold and silver vessels that his father Nebuchadnezzar had taken out of the temple in Jerusalem were to be brought in so that the king, his nobles, his wives, and his concubines might drink from them.
3 Therefore, the gold and silver vessels that had been removed from the temple, the house of God in Jerusalem, were brought in, and the king, his nobles, his wives, and his concubines drank from them. 4 They drank their wine and praised their gods of gold and silver, of bronze and iron, of wood and stone.
5 Suddenly, the fingers of a human hand appeared and began to write on the plaster of the wall of the royal palace next to the lampstand, and the king watched the hand as it wrote. 6 Then the king turned pale, and his thoughts terrified him. His legs grew limp, and his knees began to knock.
7 Then the king shouted aloud, ordering the enchanters, the Chaldeans, and the astrologers to be brought in. When they entered, he addressed the wise men of Babylon and said, “Whoever can read this writing and tell me its interpretation shall be clothed in purple, wear a gold chain around his neck, and rank third in the government of the kingdom.”
8 However, none of the king’s wise men could either read the writing or explain to the king what it meant. 9 Then King Belshazzar became greatly terrified. His face grew even more pale, and his lords were in a state of confusion.
10 When the queen heard the commotion made by the king and his lords, she came into the banqueting hall and said, “May Your Majesty live forever. Do not let your thoughts terrify you. Why should you look so pale? 11 In your kingdom there is a man who has within him the Spirit of the holy God. During your father’s lifetime this man was renowned for his enlightenment, insight, and godlike wisdom, and to such a degree that King Nebuchadnezzar, your father, appointed him as chief of the magicians, enchanters, Chaldeans, and diviners.
12 “Therefore, since this Daniel, whom the king named Belteshazzar, has a keen mind, and is endowed with knowledge and understanding and the ability to interpret dreams, explain riddles, and solve difficult problems, summon him. He will be able to give you the interpretation you seek.”
13 Then Daniel was brought into the king’s presence. The king said to him, “Are you the Daniel who was one of the Jewish exiles that my father the king brought from Judah? 14 I have been told that the Spirit of God is in you, and that you are renowned for your knowledge, understanding, and exceptional wisdom.
15 “Now the wise men and the enchanters have been brought in to me to read this writing and reveal its meaning to me, but they have been unable to interpret it. 16 Yet I have been told that you can give interpretations and solve problems. If you are able to read this writing and make known its interpretation, you shall be clothed in purple, have a chain of gold around your neck, and rank third in the government of the kingdom.”
17 Daniel Explains the Writing. Then Daniel replied to the king, “Your Majesty, keep the gifts for yourself or give them to someone else. However, I will read the writing to Your Majesty and make known to you its interpretation.
18 “O king, the Most High God gave your father Nebuchadnezzar a kingdom with power, glory, and majesty. 19 He made him so powerful that the nations and peoples of every language trembled with fear before him. He killed those whom he wished to kill; he spared those whom he wished to spare; he honored those whom he wished to honor, and he degraded those whom he wished to degrade.
20 “However, when his heart became filled with pride and his spirit became hardened with arrogance, he was deposed from his kingly throne and stripped of his glory. 21 He was banished from human society, and his mind became like that of an animal. He was forced to live with the wild asses, he fed on grass like oxen, and his body was drenched with the dew of heaven, until he learned that the Most High God has sovereignty over the kingdom of men and appoints whomever he wishes to rule it.
22 “Even though you, Belshazzar, his son, were aware of all this, you did not humble your heart. 23 You have exalted yourself against the Lord of heaven. You ordered the vessels of his temple to be brought to you, and you, your nobles, your wives, and your concubines have drunk your wine from them. You have praised the gods of silver and gold, of bronze and iron, of wood and stone, that neither see, nor hear, nor have intelligence. But you have not glorified the God in whose hands are your breath of life and the entire course of your life.
24 “That is why he sent the hand that wrote the inscription. 25 The words inscribed are Mene, Tekel, and Peres.[b] This is what the words mean:
26 “Mene: God has numbered the days of your kingdom and brought it to an end.
27 “Tekel: you have been weighed on the scales and been found wanting.
28 “Peres: your kingdom has been divided and given to the Medes and Persians.”
29 Then, at Belshazzar’s command, Daniel was clothed in purple, with a gold chain around his neck, and a proclamation was made declaring that Daniel would rank third in the government of the kingdom.
30 On that very night Belshazzar, the king of the Chaldeans, was slain.
Footnotes
- Daniel 5:1 If there was a historical Belshazzar, he was the son of Nabonidus, not of Nebuchadnezzar; in any case, he was not given an opportunity to ascend the throne, but simply substituted for his father until Babylon fell in 539 B.C. under the blows of Cyrus the Persian, who had first subdued the Medes. The text speaks of Darius the Mede (6:1), but the only Dariuses known to history were all Persians. It is not a matter of concern that the author mixes up overly vague historical memories. His purpose is a different one: to denounce once more the human pride that claims the right to laugh at God. On the figure of Belshazzar are imposed the characteristics of Antiochus IV, who sacked temples, profaned things holy, and had himself worshiped as a god, while haughtily controlling the destiny of human beings (see 1 Mac 1:16-64; 6:1-5; 2 Mac 3:1-40; 5:11-20; 9:2).
- Daniel 5:25 The words of the inscription are names of weights or monies, allowing the play on words in the interpretation.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
