Add parallel Print Page Options

29 (A)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
    ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
    tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
    mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
    Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(B)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Read full chapter

19 (A)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
    agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
    Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
    so tekiriimu bulamu n’akatono.

Read full chapter

10 (A)Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
    na buli mukka ogussibwa abantu bonna.

Read full chapter

(A)Amakubo gange gonna tagalaba,
    era tamanyi ntambula yange?

Read full chapter

Okusaba kwa Yeremiya

23 (A)Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
    omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

Read full chapter