Yokaana 15-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (A)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (B)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (C)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (D)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (E)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (F)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (G)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 (H)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (I)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (J)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 (K)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (L)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (M)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (N)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (O)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (P)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 (Q)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (R)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (S)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (T)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (U)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (V)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (W)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
26 (X)“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 (Y)Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”
16 (Z)“Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala. 2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda. 3 Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi. 4 Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe. 5 (AA)Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ 6 Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7 (AB)Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. 8 Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, 9 (AC)kubanga tebanzikkiriza, 10 (AD)olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 (AE)n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
12 (AF)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (AG)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 (AH)Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga. 16 (AI)Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 (AJ)Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19 Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 (AK)Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 (AL)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 (AM)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 (AN)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 (AO)Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 (AP)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (AQ)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (AR)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (AS)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 (AT)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (AU)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 (AV)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”
John 15-16
New International Version
The Vine and the Branches
15 “I am(A) the true vine,(B) and my Father is the gardener. 2 He cuts off every branch in me that bears no fruit,(C) while every branch that does bear fruit(D) he prunes[a] so that it will be even more fruitful. 3 You are already clean because of the word I have spoken to you.(E) 4 Remain in me, as I also remain in you.(F) No branch can bear fruit by itself; it must remain in the vine. Neither can you bear fruit unless you remain in me.
5 “I am the vine; you are the branches. If you remain in me and I in you, you will bear much fruit;(G) apart from me you can do nothing. 6 If you do not remain in me, you are like a branch that is thrown away and withers; such branches are picked up, thrown into the fire and burned.(H) 7 If you remain in me(I) and my words remain in you, ask whatever you wish, and it will be done for you.(J) 8 This is to my Father’s glory,(K) that you bear much fruit, showing yourselves to be my disciples.(L)
9 “As the Father has loved me,(M) so have I loved you. Now remain in my love. 10 If you keep my commands,(N) you will remain in my love, just as I have kept my Father’s commands and remain in his love. 11 I have told you this so that my joy may be in you and that your joy may be complete.(O) 12 My command is this: Love each other as I have loved you.(P) 13 Greater love has no one than this: to lay down one’s life for one’s friends.(Q) 14 You are my friends(R) if you do what I command.(S) 15 I no longer call you servants, because a servant does not know his master’s business. Instead, I have called you friends, for everything that I learned from my Father I have made known to you.(T) 16 You did not choose me, but I chose you and appointed you(U) so that you might go and bear fruit(V)—fruit that will last—and so that whatever you ask in my name the Father will give you.(W) 17 This is my command: Love each other.(X)
The World Hates the Disciples
18 “If the world hates you,(Y) keep in mind that it hated me first. 19 If you belonged to the world, it would love you as its own. As it is, you do not belong to the world, but I have chosen you(Z) out of the world. That is why the world hates you.(AA) 20 Remember what I told you: ‘A servant is not greater than his master.’[b](AB) If they persecuted me, they will persecute you also.(AC) If they obeyed my teaching, they will obey yours also. 21 They will treat you this way because of my name,(AD) for they do not know the one who sent me.(AE) 22 If I had not come and spoken to them,(AF) they would not be guilty of sin; but now they have no excuse for their sin.(AG) 23 Whoever hates me hates my Father as well. 24 If I had not done among them the works no one else did,(AH) they would not be guilty of sin.(AI) As it is, they have seen, and yet they have hated both me and my Father. 25 But this is to fulfill what is written in their Law:(AJ) ‘They hated me without reason.’[c](AK)
The Work of the Holy Spirit
26 “When the Advocate(AL) comes, whom I will send to you from the Father(AM)—the Spirit of truth(AN) who goes out from the Father—he will testify about me.(AO) 27 And you also must testify,(AP) for you have been with me from the beginning.(AQ)
16 “All this(AR) I have told you so that you will not fall away.(AS) 2 They will put you out of the synagogue;(AT) in fact, the time is coming when anyone who kills you will think they are offering a service to God.(AU) 3 They will do such things because they have not known the Father or me.(AV) 4 I have told you this, so that when their time comes you will remember(AW) that I warned you about them. I did not tell you this from the beginning because I was with you,(AX) 5 but now I am going to him who sent me.(AY) None of you asks me, ‘Where are you going?’(AZ) 6 Rather, you are filled with grief(BA) because I have said these things. 7 But very truly I tell you, it is for your good that I am going away. Unless I go away, the Advocate(BB) will not come to you; but if I go, I will send him to you.(BC) 8 When he comes, he will prove the world to be in the wrong about sin and righteousness and judgment: 9 about sin,(BD) because people do not believe in me; 10 about righteousness,(BE) because I am going to the Father,(BF) where you can see me no longer; 11 and about judgment, because the prince of this world(BG) now stands condemned.
12 “I have much more to say to you, more than you can now bear.(BH) 13 But when he, the Spirit of truth,(BI) comes, he will guide you into all the truth.(BJ) He will not speak on his own; he will speak only what he hears, and he will tell you what is yet to come. 14 He will glorify me because it is from me that he will receive what he will make known to you. 15 All that belongs to the Father is mine.(BK) That is why I said the Spirit will receive from me what he will make known to you.”
The Disciples’ Grief Will Turn to Joy
16 Jesus went on to say, “In a little while(BL) you will see me no more, and then after a little while you will see me.”(BM)
17 At this, some of his disciples said to one another, “What does he mean by saying, ‘In a little while you will see me no more, and then after a little while you will see me,’(BN) and ‘Because I am going to the Father’?”(BO) 18 They kept asking, “What does he mean by ‘a little while’? We don’t understand what he is saying.”
19 Jesus saw that they wanted to ask him about this, so he said to them, “Are you asking one another what I meant when I said, ‘In a little while you will see me no more, and then after a little while you will see me’? 20 Very truly I tell you, you will weep and mourn(BP) while the world rejoices. You will grieve, but your grief will turn to joy.(BQ) 21 A woman giving birth to a child has pain(BR) because her time has come; but when her baby is born she forgets the anguish because of her joy that a child is born into the world. 22 So with you: Now is your time of grief,(BS) but I will see you again(BT) and you will rejoice, and no one will take away your joy.(BU) 23 In that day(BV) you will no longer ask me anything. Very truly I tell you, my Father will give you whatever you ask in my name.(BW) 24 Until now you have not asked for anything in my name. Ask and you will receive,(BX) and your joy will be complete.(BY)
25 “Though I have been speaking figuratively,(BZ) a time is coming(CA) when I will no longer use this kind of language but will tell you plainly about my Father. 26 In that day you will ask in my name.(CB) I am not saying that I will ask the Father on your behalf. 27 No, the Father himself loves you because you have loved me(CC) and have believed that I came from God.(CD) 28 I came from the Father and entered the world; now I am leaving the world and going back to the Father.”(CE)
29 Then Jesus’ disciples said, “Now you are speaking clearly and without figures of speech.(CF) 30 Now we can see that you know all things and that you do not even need to have anyone ask you questions. This makes us believe(CG) that you came from God.”(CH)
31 “Do you now believe?” Jesus replied. 32 “A time is coming(CI) and in fact has come when you will be scattered,(CJ) each to your own home. You will leave me all alone.(CK) Yet I am not alone, for my Father is with me.(CL)
33 “I have told you these things, so that in me you may have peace.(CM) In this world you will have trouble.(CN) But take heart! I have overcome(CO) the world.”
Footnotes
- John 15:2 The Greek for he prunes also means he cleans.
- John 15:20 John 13:16
- John 15:25 Psalms 35:19; 69:4
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.
NIV Reverse Interlinear Bible: English to Hebrew and English to Greek. Copyright © 2019 by Zondervan.