Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
7 (A)Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,
ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,
okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;
weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
okusinziira ku kisa kye,
okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 (B)Yagamba nti, “Ddala bantu bange,
abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”
era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 (C)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
yabayimusa
n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (G)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
10 (A)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 (B)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (C)Agamba nti,
“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13 (D)Era awalala agamba nti,
“Nze nnaamwesiganga oyo.”
Ate ne yeeyongera n’agamba nti,
“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
14 (E)Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 (F)Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 (G)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 (H)Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
Okuddukira e Misiri
13 (A)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 (B)Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:
“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
Okutta Abaana Abato
16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,
18 (C)“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
kubanga bonna baweddewo.”
Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi
19 (D)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (E)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[a] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (F)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.