Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
14 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2 (B)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
era abanoonya Katonda.
3 (C)Naye bonna bakyamye
boonoonese;
teri akola kirungi,
era teri n’omu.
4 (D)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Mukama.
5 Balitya nnyo!
Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6 (E)Mulemesa entegeka z’omwavu,
songa Mukama kye kiddukiro kye.
7 (F)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
Mukama bw’alirokola abantu be,
Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
20 (A)Muyimuse amaaso gammwe
mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
endiga ezaabeeyinuzanga?
21 (B)Muligamba mutya Mukama
bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 (C)Era bwe weebuuza nti,
“Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
24 (D)“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 (E)Guno gwe mugabo gwo
gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 (F)Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
obwereere bwammwe ne bulabika.
27 (G)Ndabye obwenzi bwammwe
n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, 2 (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
Okwerinda Enjigiriza Enkyamu
3 (C)Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. 4 (D)Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. 5 (E)Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. 6 Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. 7 Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. 8 (F)Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. 9 (G)Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, 10 (H)n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, 11 (I)ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.