Add parallel Print Page Options

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.

Read full chapter

13 (A)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono.

Read full chapter

(A)Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.
    Obusungu bwange bubabuubuukirako.
Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?

Read full chapter