Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 60

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.

60 (A)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
    otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
(B)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
    tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
(C)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
    tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
    era akatiisa abalabe baabwe.

(D)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
(E)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
    “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
    era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(F)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
    ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
(G)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
    ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
    ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”

Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (H)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala na magye gaffe?
11 (I)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (J)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
    kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Koseya 11:12-12:14

Ekibi kya Isirayiri

12 (A)Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
    n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
    ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
12 (B)Efulayimu alya mpewo;
    agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
    era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
    n’aweereza n’amafuta e Misiri.
(C)Mukama alina ensonga ne Yuda,
    era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
    Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
(D)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
    ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
(E)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
    n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
(F)Mukama Katonda ow’Eggye,
    Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
(G)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
    kuuma okwagala n’obwenkanya,
    olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.

(H)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
    era anyumirwa okukumpanya.
(I)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
    “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
    wadde okwonoona kwonna.”

(J)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
    nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (K)Nayogera eri bannabbi,
    ne mbawa okwolesebwa kungi,
    ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (L)Gireyaadi butali butuukirivu
    era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
    era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (M)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
    Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
    era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (N)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
    era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (O)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
    Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
    n’amusasula olw’obunyoomi bwe.

Abakkolosaayi 3:18-4:1

18 (A)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (B)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (C)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Ebiragiro Ebirala

Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.