Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
(E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
(F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
(H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

(I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 (V)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (W)Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 (X)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 (Y)Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Koseya 2:14-3:5

14 Kale kyendiva musendasenda,
    ne mmutwala mu ddungu,
    ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (A)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
    ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
    era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
    “olimpita nti, ‘mwami wange;’
    toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 (B)Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
    so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 (C)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.
19 (D)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (E)Ndikwogereza mu bwesigwa,
    era olimanya Mukama.
21 (F)“Ku lunaku olwo,
    ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (G)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
    ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[b]
    bw’ayogera Mukama.
23 (H)“Ndimwesimbira mu nsi,
    ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

Koseya addiŋŋana ne mukazi we

(I)Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”

Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”

(J)Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi. (K)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.

Abakkolosaayi 2:16-3:1

16 (A)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (B)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (C)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (D)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.

20 (E)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (F)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.