Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

(A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
    ngobaako bonna abangigganya era omponye,
(B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
    ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

(C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
    era ng’engalo zange ziriko omusango,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
    oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
    bankube wansi banninnyirire,
    banzitire mu nfuufu.

(D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
    Golokoka, Ayi Katonda wange,
    onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
    obafuge ng’oli waggulu ennyo.
    (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era n’amazima agali mu nze bwe gali.
(F)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
    alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
    era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
    n’aleega omutego gwe
    ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
    era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
    n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
    n’obukambwe bwe bumuddire.

17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
    nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Amosi 5:1-9

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

(A)Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.

(B)“Isirayiri embeerera agudde
    obutayimuka nate.
Bamwabulidde
    era tewali amuyimusa.”

(C)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
    kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
    kirizza kkumi bokka!”

(D)Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.
    (E)Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
    wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    era ne Beseri kiriggwaawo.”
(F)Munoonye Mukama munaabanga balamu
    aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
    nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

(G)Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
    mutulugunya obutuukirivu.

(H)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
    era afuula ekisiikirize okubeera enkya
    era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
    ne gafukirira ensi ng’enkuba,
    Mukama lye linnya lye.
(I)Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
    era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.

Matayo 25:31-46

Endiga n’Embuzi

31 (A)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 (B)Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.

34 (C)“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 35 (D)Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 36 (E)nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’

40 (F)“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

41 (G)“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

45 (H)“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

46 (I)“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.