Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 71:1-6

71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(E)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(F)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.

2 Ebyomumirembe 36:11-21

11 (A)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. 12 (B)N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama. 13 (C)N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri. 14 (D)Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.

Okugwa kwa Yerusaalemi

15 (E)Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera. 16 (F)Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira. 17 (G)Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza. 18 (H)Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be. 19 (I)Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.

20 (J)N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi. 21 (K)Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.

Yokaana 1:43-51

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

43 (A)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44 (B)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (C)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46 (D)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47 (E)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”

49 (F)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (G)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.