Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli.
98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 (B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3 (C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
obulokozi bwa Katonda waffe.
20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 21 (A)“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 22 (B)Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.
23 (C)“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
1 (A)Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. 2 (B)Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.
3 (C)Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
4 (D)Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. 5 (E)Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” 6 (F)Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
7 (G)Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. 8 (H)Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. 9 (I)Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 10 (J)Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 11 (K)Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
12 (L)Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
13 (M)Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.