Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Okukungubaga 1:16-22

16 (A)“Kyenva nkaaba,
    amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
    ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
    kubanga omulabe awangudde.”

17 (B)Sayuuni agolola emikono gye,
    naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
    baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
    ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

18 (C)Mukama mutuukirivu,
    newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
    mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
    batwalibbwa mu busibe.

19 (D)“Nakoowoola bannange bannyambe,
    naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
    bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
    baddemu amaanyi.

20 (E)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

21 (F)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
    naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
    basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
    lubatuukeko, babeere nga nze.

22 (G)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
    nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
    n’omutima gwange guzirika.”

Yakobo 1:2-11

(A)Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. (B)Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. (C)Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo. Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. (D)Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.

Obwavu n’obugagga

Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 10 (E)N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 11 (F)Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.