Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 100

Zabbuli ey’okwebaza.

100 (A)Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
    (B)Muweereze Mukama n’essanyu;
    mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
(C)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

(D)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(E)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Yeremiya 50:17-20

17 (A)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
    empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
    yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
    yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”

18 (B)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
    nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (C)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
    era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
    ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (D)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.

Yokaana 10:31-42

31 (A)Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32 Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”

33 (B)Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”

34 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35 Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 36 (D)ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 37 (E)Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 38 (F)naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 39 (G)Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.

40 (H)N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 41 (I)Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 42 (J)Bangi ne bamukkiririza eyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.