Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
Musa Asisinkana Katonda ku Lusozi Sinaayi
16 (A)Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17 Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 18 (B)Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 (C)Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.
20 Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya. 21 (D)Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira. 22 (E)Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”
23 (F)Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”
24 (G)Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”
25 Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.
2 (A)Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba, 3 (B)ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo! 4 Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!
5 (C)Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.” 6 Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.
7 (D)Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
8 Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.