Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 1:1-5

Entandikwa

(A)Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. (B)Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.

(C)Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. (D)Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.

Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (I)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (J)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Ebikolwa by’Abatume 19:1-7

Pawulo mu Efeso

19 (A)Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko, n’ababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.” N’ababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.” (B)Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. (C)Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi. Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.

Makko 1:4-11

(A)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. (B)Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. (C)Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. (D)Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”

Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe

(E)Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 10 (F)Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 11 (G)Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.