Add parallel Print Page Options

Kigambo

(A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:1 Kigambo ye Kristo

(A)“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
    Mbuulira bw’oba otegeera.

Read full chapter

(A)Ensozi nga tezinnabaawo,
    n’ensi yonna nga tonnagitonda;
    okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

Read full chapter

(A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
    Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
    era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.

Read full chapter

Yerusaalemi kya kuzzibwawo

24 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
    eyakutondera mu lubuto.

“Nze Mukama,
    eyatonda ebintu byonna,
    eyabamba eggulu nzekka,
    eyayanjuluza ensi obwomu,

Read full chapter

12 (A)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.

Read full chapter

18 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
    Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
    Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.

Read full chapter

24 (A)“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu,

Read full chapter

(A)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.

Read full chapter

11 (A)“Mukama waffe era Katonda waffe,
    osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,
kubanga gwe watonda ebintu byonna
    era byonna byatondebwa ku lulwo
    era gwe wasiima okubiteekawo.”

Read full chapter