Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Naamani Awonyezebwa Ebigenge
5 (A)Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli[a], nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.
2 (B)Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani. 3 (C)Omuwala n’agamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.”
4 Awo Naamani n’agenda n’ategeeza mukama we ebigambo by’omuwala eyava mu Isirayiri. 5 (D)Kabaka wa Busuuli n’amuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende n’ebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri[b].” Awo Naamani n’asitula, n’atwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, n’ebika by’engoye eby’enjawulo kkumi. 6 Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.” 7 (E)Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?” 8 (F)Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”
9 Awo Naamani n’asitula n’embalaasi ze n’amagaali ge n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa. 10 (G)Erisa n’atuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.”
11 (H)Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya. 12 (I)Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi.
13 (J)Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ” 14 (K)N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto.
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.
30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
kubanga wannyimusa;
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 (B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
n’omponya.
3 (C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
n’omponya ekinnya.
4 (D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 (E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
6 Bwe namala okunywera
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 (F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
ne neeraliikirira.
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 (G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
Ayi Mukama, onnyambe.”
24 (A)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (B)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (C)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Yesu Awonya Omugenge
40 (A)Awo omugenge[a] n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41 Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42 Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43 Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 44 (B)ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” 45 (C)Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.