Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
2 (B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
3 (C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
4 (D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.
5 (E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
6 (F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
7 (G)Omugongo gunnuma nnyo,
ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
8 (H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.
9 (I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
17 Kubanga nsemberedde okugwa,
era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
18 (A)Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
19 (B)Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 (C)Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,[a] abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21 (D)Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 (E)Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23 (F)Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 (G)Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 (H)Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 (I)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
8 (A)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. 9 (B)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (C)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (D)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
14 (E)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (F)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (G)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (H)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.