Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2 (B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
era anaamuwanga omukisa mu nsi;
n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
n’amuwonya mu bulumi.
4 (C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5 (D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6 (E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7 (F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
nga banjogerako ebitali birungi.
8 Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
emukubye wansi tayinza kuwona.”
9 (G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.
10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.
12 (A)Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti,
“Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.
13 (B)“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, 14 (C)abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. 15 (D)Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino. 16 (E)Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.
17 (F)“Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange, 18 (G)ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’
19 (H)“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza, 20 (I)ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna. 21 (J)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 22 Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”
2 Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. 3 (A)Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. 4 (B)Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5 (C)Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. 6 Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. 7 (D)Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. 8 Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.