Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (B)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
16 (A)Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 (B)Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 18 (C)Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. 19 (D)Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
20 (E)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 21 (F)siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 22 (G)Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23 Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
8 (A)Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu. 9 (B)Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.
10 (C)Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, 11 (D)ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.
12 (E)Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe. 13 (F)Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 14 (G)Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
15 (H)“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”
16 (I)Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.
17 (J)Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” 18 (K)Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi. 19 (L)Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda. 20 (M)Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. 21 (N)N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.