Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 86:1-10

Okusaba kwa Dawudi.

86 (A)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
    kubanga ndi mwavu atalina kintu.
(B)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
    Katonda wange, ondokole
    nze omuddu wo akwesiga.
(C)Onsaasire, Ayi Mukama,
    kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
(D)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
    kubanga omwoyo gwange
    nguyimusa eyo gy’oli.

(E)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
    owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
(F)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
    kubanga ononnyanukulanga.

(G)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
(H)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
    ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
    era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (I)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
    ggwe wekka ggwe Katonda.

Ezeekyeri 29:3-7

(A)Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,
    ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,
ogwogera nti, “Kiyira wange,
    era nze nnamwekolera.”
(B)Nditeeka amalobo mu mba zo,
    era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.
Ndikusikayo mu migga gyo
    ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
(C)Ndikutwala mu ddungu,
    ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.
Oligwa ku ttale,
    so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.
Ndikuwaayo okuba emmere
    eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.

(D)Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. (E)Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.

Lukka 11:53-12:3

53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (A)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.

Ebirabula n’Ebigumya

12 (B)Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. (C)Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.