Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (B)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (D)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
Yeremiya Agula Ennimiro
32 (A)Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza. 2 (B)Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.
3 (C)Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba. 4 (D)Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso. 5 (E)Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”
6 Yeremiya n’agamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira: 7 (F)Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’
8 “Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’
“Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. 9 (G)Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.
36 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’ 37 (B)Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe. 38 (C)Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. 39 (D)Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo. 40 (E)Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako. 41 (F)Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.
Obufumbo mu Kuzuukira
23 (A)Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 (B)“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”
29 (C)Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30 (D)Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31 Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32 (E)‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
33 (F)Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.