Add parallel Print Page Options

Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! (A)Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.

Read full chapter

28 (A)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abanaakiwamba.

Read full chapter

(A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukyokya. (B)Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gy’ali. Oliraba kabaka w’e Babulooni n’amaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.

Read full chapter