Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Isaaya 42:14-21

Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be

14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,
    nga nsirise neekuumye.
Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,
    nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15 (A)Ndizikiriza ensozi n’obusozi,
    egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.
Era ndikaza ebinywa byabwe byonna
    n’emigga ndigifuula ebizinga.
16 (B)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
    n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
    n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
    sirireka bantu bange.
17 (C)Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,
    ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,
    era baligobebwa, mu buswavu obungi.”

Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa

18 (D)“Muwulire mmwe bakiggala,
    mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19 (E)Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,
    oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?
Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,
    oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20 (F)Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,
    amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21 (G)Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
    okukuza amateeka ge
    n’okugassaamu ekitiibwa.

Abakkolosaayi 1:9-14

(A)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (B)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (C)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (D)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (E)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.