Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 58:1-9

Okusiiba okw’Amazima

58 (A)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
    tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[a]
    obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
(B)Kubanga bannoonya buli lunaku
    era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
    so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
    ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
(C)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
    Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
    ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
    musigala munyigiriza abakozi bammwe.
(D)Njagala mulabe.
    Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,
n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.
    Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
(E)Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
    Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?
Kukutamya bukutamya mutwe,
    kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?
Okwo kwe muyita okusiiba,
    olunaku olusiimibwa Mukama?

(F)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
    n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
    n’okumenya buli kikoligo?
(G)Si kugabira bayala ku mmere yo,
    n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
    n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
(H)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
    gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
    era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
(I)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
    olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.

“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
    n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;

Isaaya 58:9-12

(A)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
    olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.

“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
    n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (B)bw’olyewaayo okuyamba abayala
    n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
    ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (C)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
    n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
    amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
    era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (D)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
    era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
    omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.

Zabbuli 112:1-9

112 (A)Mutendereze Mukama![a]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(B)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(C)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(D)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(E)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(F)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(G)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

Zabbuli 112:10

10 (A)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.

1 Abakkolinso 2:1-12

(A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

(F)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (G)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (H)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (I)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (J)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 12 (K)Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa,

1 Abakkolinso 2:13-16

13 (A)era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 14 (B)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

16 (C)“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,
    era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Matayo 5:13-20

Omunnyo n’Omusana

13 (A)“Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

14 (B)“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. 15 (C)Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. 16 (D)Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Okutuukiriza Amateeka

17 (E)“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. 18 (F)Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. 19 (G)Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 20 Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.