Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
82 (A)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
ng’alamula bakatonda.
2 (B)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3 (C)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5 (D)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6 (E)Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7 (F)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8 (G)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
1 (A)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.
2 (B)Amosi yagamba nti,
“Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,
era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;
omuddo mu malundiro gulikala
n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”
Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri
3 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
nga babasalaasala n’ebyuma.
4 (D)Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri
era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
5 (E)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
bw’ayogera Mukama.
6 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe
n’alitunda eri Edomu.
7 Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza
ogulyokya ebigo byakyo.
8 (G)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
bw’ayogera Mukama.
9 (H)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,
“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (I)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
ogunaayokya ebigo byakyo.”
11 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
era ne batabusalako.
12 (K)Ndiweereza omuliro ku Temani
oguliyokya ebigo bya Bozula.”
13 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (M)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
ye n’abakungu be bonna,”
bw’ayogera Mukama.
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
ne gafuuka evvu.
2 Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
3 (N)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
bw’ayogera Mukama.
Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi
14 (A)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (B)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (C)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18 (D)Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 (E)Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
20 (F)Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 (G)Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 (H)Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 (I)n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25 (J)Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 (K)Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.