Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.
108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
nzija kuyimba okukeesa obudde.
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 (A)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abo booyagala banunulibwe.
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
“Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8 (B)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize;
ate Edomu be baddu bange;
Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (C)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Abayisirayiri Basaba Kabaka
8 (A)Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 2 (B)Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. 3 (C)Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.
4 (D)Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, 5 (E)ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.”
6 (F)Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. 7 (G)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. 8 Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. 9 (H)Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.”
10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. 11 (I)N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. 12 (J)Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. 13 Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. 14 (K)Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. 15 Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. 16 Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. 17 Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. 18 (L)Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.”
19 (M)Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, 20 (N)naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.”
21 (O)Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu Mukama. 22 (P)Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.”
Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”
Setaani Azikirizibwa
7 (A)Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 8 (B)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 9 (C)Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. 10 (D)Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
Abafu Balamulwa
11 (E)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 12 (F)Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 13 (G)Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 14 (H)Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 15 (I)Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.