Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 84

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (A)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(B)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(C)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(E)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(F)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

2 Ebyomumirembe 29:1-11

Keezeekiya Atukuza Yeekaalu

29 (A)Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. (B)Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.

(C)Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza. N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba, (D)n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu. (E)Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega. Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri. (F)Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe. (G)Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe. 10 (H)Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko. 11 (I)Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.”

2 Ebyomumirembe 29:16-19

16 (A)Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni. 17 Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza.

18 Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna. 19 (B)N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.”

Abaebbulaniya 9:23-28

23 (A)Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. 24 (B)Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. 25 (C)Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe, 26 (D)kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. 27 (E)Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, 28 (F)era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.