Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (A)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (B)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
3 (C)Amazima n’ekisa tobyerabiranga;
byesibe mu bulago bwo,
obiwandiike ku mutima gwo.
4 (D)Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
eri Katonda n’eri abantu.
5 (E)Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 (F)Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 (G)Amagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 (H)Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo
n’amagumba go ne gadda buggya.
Amagezi n’Obugagga
11 (A)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (B)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?
Okulabula ku kwekulumbaza
13 (C)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (D)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (E)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (F)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (G)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.