Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 (A)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (B)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 (C)Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (D)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (E)Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
55 (A)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (B)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
57 (C)Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
58 (D)Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
59 (E)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (F)Walaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (G)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
32 (A)Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 33 (B)N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 34 (C)Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.