Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Danyeri 7:1-8

Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya

(A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.

(B)Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, (C)n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.

(D)“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.

(E)“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’

(F)“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.

(G)“N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.

(H)“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.

Danyeri 7:15-18

Amakulu g’Ekirooto

15 (A)“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza. 16 (B)Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna.

“N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti, 17 ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. 18 (C)Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’

Yokaana 3:31-36

31 (A)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (B)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (C)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (D)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (E)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.