Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 126

Oluyimba nga balinnya amadaala.

126 (A)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
    twafaanana ng’abaloota.
(B)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
    ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
    Mukama abakoledde ebikulu.”
(C)Mukama atukoledde ebikulu,
    kyetuvudde tusanyuka.

(D)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
    tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
(E)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
    baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Oyo agenda ng’akaaba
    ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
    ng’aleeta ebinywa bye.

Yeremiya 23:9-15

Bannabbi Abalimba

(A)Ebikwata ku bannabbi:

omutima gwange gwennyise mu nda yange
    amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
    ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
    n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 (B)Ensi ejjudde abenzi;
    olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
    era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
    era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.

11 (C)“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
    ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
    bw’ayogera Mukama.
12 (D)“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
    era bajja kusuulibwa mu kizikiza
    era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
    mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
    bw’ayogera Mukama.

13 (E)“Mu bannabbi b’e Samaliya
    nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
    ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 (F)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
    ndabye ekintu ekibi ennyo.
    Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
    ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
    abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

15 (G)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
    banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
    obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

Abaebbulaniya 7:1-10

Kabona Merukizeddeeki

(A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.

(C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.