Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:169-176

ת Taawu

169 (A)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (B)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (C)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (D)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (E)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (F)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (G)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Isaaya 10:12-20

12 (A)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (B)Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
    era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
    Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
    ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (C)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
    omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
    bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
    newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

15 (D)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
    Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
    oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (E)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
    ogwokya ng’oluyiira.
17 (F)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
    n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
    amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (G)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
    n’ennimiro ze, engimu,
    ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (H)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
    nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (I)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.

Yokaana 7:25-36

Yesu ye Kristo

25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 (A)Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 (B)Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”

28 (C)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 (D)Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”

30 (E)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 (F)Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”

32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 33 (G)Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 34 (H)Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”

35 (I)Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.