Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
8 (A)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 (B)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri,
kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 (C)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (D)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 (E)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 (F)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (G)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
1 Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe, 2 (A)ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. 3 (B)Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. 4 (C)Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.