Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
1 (A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
Eggwanga Ejjeemu
2 (B)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
naye ne banjeemera.
3 (C)Ente emanya nannyini yo
n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
abantu bange tebantegeera.”
4 (D)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 (E)Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
n’omutima gwonna gunafuye.
6 (F)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
wadde okuteekebwako eddagala.
7 (G)Ensi yammwe esigadde matongo,
ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8 (H)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
ng’ekibuga ekizingiziddwa.
9 (I)Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
twandifuuse nga Ggomola.
39 (A)Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola. 40 (B)Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola. 41 (C)Mukola emirimu gya kitammwe.”
Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 (D)Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma. 43 Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. 44 (E)Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba. 45 (F)Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. 46 Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? 47 (G)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.