Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
17 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (B)Leka bajje mangu
batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (C)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
‘Nga tunyagiddwa!
Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
20 (D)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (E)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
22 (F)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
23 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (H)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
bw’ayogera Mukama.
25 (I)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (J)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
10 (A)Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 11 (B)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 12 (C)Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 13 (D)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 14 (E)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (F)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.