Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
65 (A)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 (B)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 (C)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
4 (D)Alina omukisa oyo gw’olonda
n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 (E)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
abali ewala mu nnyanja zonna,
6 (F)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 (G)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 (A)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
okuwa abantu emmere ey’empeke,
kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (B)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (C)Amalundiro gajjula ebisibo,
n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Katonda bye Yayogera Bituukirira
48 (A)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isirayiri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 (B)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 (C)Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
byava mu kamwa kange ne mbyogera.
Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 (D)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
ekyenyi ng’ekikomo.
5 (E)Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
Ekifaananyi kyange ekyole
n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
12 (A)Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka. 13 (B)Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu. 14 (C)Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa. 15 Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi. 16 (D)Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kw’aliramulira abantu olw’ebyo bye baakisa, ng’enjiri yange bw’eri ku bwa Yesu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.