Revised Common Lectionary (Complementary)
Okwemulugunya kwa Yeremiya
7 Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
8 (A)Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
9 (B)Naye bwe ŋŋamba nti,
“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
era ddala sisobola.
10 (C)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
Mumuloope.
Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
tumugweko
tuwoolere eggwanga.”
11 (D)Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12 (E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
13 (F)Muyimbire Mukama Katonda.
Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
11 (A)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (B)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (C)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (D)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (E)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
Okuba Abalamu mu Kristo
6 (A)Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2 (B)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 (C)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 (D)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 (E)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 (F)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 9 (G)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (H)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
11 (I)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
24 (A)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (B)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
26 (C)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (D)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (E)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (F)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
32 (G)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 (H)Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34 “Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. 35 (I)Kubanga najja okwawukanya
“ ‘omwana owoobulenzi ne kitaawe,
n’omwana owoobuwala ne nnyina
n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.
36 (J)Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’
37 (K)“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. 38 (L)N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira. 39 (M)Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.